Bobi Wine atuyanyiza abanene bwatuse e Luwero




Oluvanyuma lwakabanga akanene nga omukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni atwala disitulikiti ye Luweero nga ekibuga kye ekikulu ekya Meccah olwensonga wano weyasinzira okuwamba gavumenti ya Obote mu mwaaka gwa 1985 era nga eno abadde alinayo obuwagizi bunji.
Bobi Wine bweyatuuseyo mubitundu bye Luwero nga ali mukukuba kakuyege ze zeyegwanyizamu entebe ye gwanga enkulu, kigambibwa nti ekintu yakiyiye oluvanyuma lwokuwandula ebigambo ebyookya eri amatu gwabantu bomu Luwero.
“Museveni gamubugumye,tasobola kubba kalulu nebwakola atya bagezako e kyadondo nebibalema,e bugiri,ne arua byabalema bwenakilimu era attide kuba akasera ke kawedeyo”ebyo byebimu kubigambo HE Kyagulanyi Sentamu bwabadde e Luwero ne Nakaseke ewa gen Saleh gyeyateka amakanda ga gavumeti ye nga eno yewali abaana nabazzukulu abo aba,zilwanako nga kati bano kilabika bakoye ebisubizo bya jajja wabwe museveni byazze abasubiza omuli okubasasula ebintu ebyafilwa mu lutalo emyaka 38 emabega.
Amasasi,teargas,kiboko,ne curfew banyose nga abanene ba majje bategedde nti ekya kyagulanyi okuwada ebigambo byobusagwa bijja kwonona ekiffananyi kya NRM atte nga waano wewali obuwagizi bwabwe kwekusalawo okusawo omukono ogwe kyuma wabula nga ekintu kyabadde kyayise dda.
Kyagulanyi eno awazze omuliro nga museveni ne banne bwebatayinza kumusobola nti kubba si kyali wabwe nga bwekyali ku besigye,Tumukunde,Mbabazi nabalala nti era obukodyo alina bungi nyo,ayongedeko nti kabere lubaale kabere katonda museveni ne byabakama tebasobola kuba kalulu,asubiza okujja Luwero mu bwavu singa anatula mu statehouse mu 2021.
Obuzibu obulala bwaletede museveni ,kwekujjayo omuzadde eyafiluddwa omwana omuto enyo Anold walusimbi eyakubiddwa akulira poliisi e Luwero kasana Afande Tukundane ,abazadde bwebaweddwa akakisa okwogera nabo balayidde nga bwebamalilude okuffa kuba tebakyali kyebaza nti bagenda kuyiga akalulu ka kyagulanyi okuffa nokuwona..
Kyagulanyi asabye abantu obutatya kegabere masasi oba teargas nti kuba bakyali bali mitwalo mukaaga tebayinza kutta bantu avaali mu bukadde 45,atte nga 90% nabo bali muyala bagala nkyukakyuka nga mwe…
Akakasiza nti ennaku ebula 50 zokka museveni bamusibule bo abavubuka batandike uganda empya..




Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
0FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles