Olunaku lwolwaleero omukulembeze wegwanga Yoweri Tibuhabula Kaguta Museveni abaddeyo nokwogerako eri egwanga kunsonga ezenjawulo ezekuusa kumbera ensi jakulembera mweri nga yetegekera okugenda mukalulu kabona aka 2021.
Mukwogerakwe, Museveni akinoganyiza nga bwagenda okukola kwabo bona abetesetese okutabangula emirembe ja Uganda nadala abo abakozesa ekyokwekalakasa nga ekyokulwanyisa olwono ye bagambye nti bano babeera batabangula egwanga.
Museveni era avumiridde abo abekalakaasa oluvanyuma lwokukwatibwa kwa akulira ekibiina Kya National Unity Platform omukulu Kyagulanyi Ssentamu Robert era wano ategezeza nti tebalowoza nti ono wanjawulo era mbu takwatwako.
Museveni kunsonga yabantu abawera 45 abatibwa mukwekalakasa jebuvudeko, ategezeza nti gavumenti egenda kubaliyirira, nga kino yakukikola nga ewa abenganda zabwe ensimbi
Also Read:Â Bobi Wine atuyanyiza abanene bwatuse e Luwero