Balesewo omulambo nebaduka okulaba ku Bobi Wine




Abakungubazi baduse nebalekawo omuffu okugenda okwerabira kwavuganya kuntebe ye gwanga Kyagulanyi Ssentamu Robert abasinga gwebakazako erya Bobi Wine.

Bino byabadde mubitundu bye Luuka mubuvanjuba bwegwanga Uganda nga munakisinde kya people power ate nga yakwatidde NUP bendera kuntebe yobukulembeze bwe gwanga.

Kigambibwa nti abakungubazi olwagategeddeko nti Bobi Wine yabadde ayingidde mukitundu kyabwe batadeko kakola tondeka mabega okusobola okugenda okumwerabirako era wano berabidde omuffu eyabadde amaze okutekebwa mu keesi.

Bobi Wine yazeemu okukuba kakuyege zze oluvanyuma lwokuziyimiriza bweyabadde e Kween nafuna amawulire gokuffa kweyabadde owa daawa Sheikh Nuhu Muzaata Batte.

Era mukudayo yatandike mubitundu bye Luuka nga eno kijukirwa nti jeyali jebuvudeko nakwatibwa era nasibibwa mu komera e Nalufenya ekyavirako okwekalakasa mwebatira abantu abasoba mu 50.


Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
0FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles