Tuesday, January 19, 2021
Home Luganda news Bobi Wine akyaleebya abegwanyiza obukulembeze bwe gwanga ebitundu 79%

Bobi Wine akyaleebya abegwanyiza obukulembeze bwe gwanga ebitundu 79%




Akaseera tukatuusemu akasinga okubera akobunkeke mubyobufuzi bya Uganda, nawankubadde ebiseera ebiyise twali twamanyiira Rtd. Col. Kizza Besigye okubera nga yamu kubakyasinze okulaga amanyi mu kukuba kakuyege, esaawa etuse olutambi nelukyuuka!.

Kyagulanyi Ssentamu Robert, kumyaaka 38, jeyava tewali nomu yamanya wabula ebintu bikyuse nnyo okuva wewayingira ebyobufuzi bya Uganda. Kati sabiiti ziri bbiri bukyanga akakiiko kebyokulonda kawa abegwanyiza obukulembeze bwe gwanga olukusa okugenda okukuba kakuyege wano abasinga webali balindiridde balabe Ani akyasinze amanyi mubona.

Okusinzira kubatunulirizi bensonga balaga nti Bobi Wine amaanyi gayoleseza mukukuba kakuyege goleka ddala kiki ekitufu ekiri mu Uganda, Bobi Wine buli watuuka aleeka abasinga bamunyenyeza mutwe.

Jebali tebamusubira kubera namanyi mubitundu bye Karamoja, yavayo nga abaayo basiimye era nga kino kyaviraako abakulu okwenyamiramu. Bobi Wine bweyavaayo nayingira obuvanjuba bwa Uganda amaanyi gayitirira olwomukwano abantu gwebamulaga era nga wano abakulu mu gavumenti lwebalaba bino kwekudumira amajje ne bamukuma ddembe okumusako obunyogoga bweyali e Luuka era nga yatwalibwa e Nalufenya, wabula nga nokukwatibwa kwe kwakumamu muliro mu Kakuyege we oluvanyuma lwabantu okwekyaawa egwanga lyonna ekyayongera okulaga nti omwana mulenzi ono Uganda emusiimye yonna.

Webavuganya kuntebe yemu Yoweri Kaguta Museveni ye amanyi teganeyoleka nnyo oluvanyuma lwokugamba nti agoberera babyabulamu olwekirwadde ekiriwo ekya Covid-19.

Kakuyege nga bweziyimiridde ziraga nti Bobi Wine akyaleebya nebitundu 79% mu Uganda yona nga Museveni alinako 20% olwono nabasigadde nebagabana ezisigalidde.

Wabula kino sikyekyenkomeredde anti nga 14 omwezi gwa Gatonya wetugenda okulabira Ani asinga eryanyi era wano bona lwebagenda okulondebwa

Also Read: 5 Expensive Cars Owned by Bobi Wine


nyanzilivehttp://fremermedia.com
Nyanzi Live is a social media blogger, radio presenter and producer.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Latest News

Entertainment