Bobi Wine azemu okutegeka okwogerako eri e gwanga.

Munnakibiina kya National Unity Platform- NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti wakubeera live ku mikutu gye egya Social Media okwogerako eri abawagizi be olwaleero ssaawa emu n’eddakiika 45 ez’ekiro (7:45pm).

Bobi wine okuvayo nalalika okwogerako eri egwanga kidiride akwasaganya ebyemitimbagano byo’ mukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni omukulu Don Wanyama okuvayo nategeza nga omukulembeze wegwanga wagenda okwogerako eri egwanga leero kusaawa emu eyakawungezi.

Bobi Wine olulabye nga biri bityo naye kwekusalawo okusayo okwogera kwe olunaku lwolwaleero olwono asobole okuvuganya Museveni bwebali kukabinkano ennyo kwani anawangula akalulu komwaaka 2021.

Kinajukirwa nti sabiiti ewedde Yoweri Museveni bweyavaayo nategeka okwogerako eri egwanga, ne Bobi Wine yavaayo naye nasaayo okukwe nga kuno kwali kwakubeera kumutimbagano gwe ogwa “Facebook” era nga kino kyaviirako Museveni okusazamu okwogerakwe olwono abasinga nebakiwanuuza nti omukulu yali atidde omuto.

Bobi Wine yavaayo neyewaana oluvanyuma lwokukola kino, era bwatyo nategeza nga bwagenda okulemesanga Museveni okwogerangako eri egwanga buli lwanabanga ataddeyo okwogera kuno, era agamba nti Museveni akozesa akawenda kokugobaganya abali kuludda oluvuganya gavumenti nga tebakirizibwa kubeera kumukutu gwabyampuliziganya gwona.

Tetumanyi oba ne leero omukulembeze anakiriza okusazamu okwogerakwe, oba agenda kusalawo afafagane nomulenzi omutto.

Related articles

Bobi Wine atuyanyiza abanene bwatuse e Luwero

Oil in Bunyoro is not for Museveni, Bobi Wine to Buliisa People

Sam Kuteesa Accounts totally Frozen

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,379FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles