Bobi Wine tatudde atadde abakakiiko kubyokulonda kuninga.

Omuyimbi atenga munabyabukulembeze Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayita Bobi Wine olunaku lwolwaleero akyaddeko kukakiiko kebyokulonda nga yemulugunya kukyekubiira ali mubyobufuzi enaku zino nga akakiiko kano kefudde akavuganya ekibiina Kya National Unity Platform.

Bobi Wine nga aliwamu nomuwandiisi omukulu owekibiina atenga era yemuwandisi wekisinde Kya people power omukulu David Lewis Ruboganya bakyalidde akakiiko Kano nga bemulugunya ku nsonga ezenjawulo ezibadde zibabobya omutwe nga abekibiina Kya NUP.

Bwabadde ayogerako nebanamawulire, Bobi Wine ategezeza nti ensonga okubadde laangi yabwe, kwosa nakabonero kabwe aka manvuuli nti akakiiko kebyokulonda kalina okukawandiisa mubwangu ekintu kyebakiriziganyiza nakyo.

Bobi Wine era atadde akakiiko Kano kuninga singa kakola ensobi Yona nekatabeera kerufu mukulonda kwa 2021 nti kandyekanga nga kekavuddeko obuzibu bwokutabanguka kwegwanga ekintu kyagamba nti tebandikyaagadde.

Akakiiko kebyokulonda kakiriza ensobi zino era nekasubiza okwetereza.

Also read: Byabakama sikwesiga- Bobi Wine

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,375FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles