Ebyokudamu kwani ali emabega wa drone ezaze ewa Bobi Wine mukiro.

Bana Uganda bona bali mukwebuuza Kiki ekigenda mumaaso mu gwanga oluvanyuma lwa kamera ezaweredwa okukeeta mumaaka gamunakisinde Kya people power Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayita Bobi Wine.

Kamera zino zasindikidwa mumaaka ga Bobi Wine agasangibwa e Magere era nga zatuuse mumaaka gge musaawa nga teri muntu yena akirizibwa kutambula olwa kafiyu, Bobi Wine yavudeyo nakwata akatambi akalaga kamera zino era bwatyo nagumya bana Uganda nti embeera saawa yona egenda terera.

Naye ekibuuzo abasinga kyebasigadde bebuuza kyabadde kimu nti ani ali emabega wa kamera zino, okusinzira kumuzeyi atayagadde kwatukiriza bimukwatako naye nga yaliko omujaasi wa Kabaka Muteesa owokubiri wabula nawumula neyegatta ku kampuni yabayindi, yategezeza nti omubaka wekyadondo Alina okubera omwegendereza kubuli bantu basisinkana.

Ono yayongede nategeza nti Bobi Wine batandise okukeeta amaka gge bamanye baani bakolagana nabo naye nga tebamanyidwa, Ono yayongede nakakasa nti obulamu bwa Bobi Wine bulimukatyabaga akamanyi wabula nga tewali kintu kyona kyebasobola mukola Kati olwembera eri mugwanga Kati.

Bobi Wine asubirwa okwesimbawo mukifo kyobwa Pulezidenti wa Uganda mukalulu akajja nga wakuvuganya Museveni amaze muntebe Eno emyaaka 35.

Also Read: ‍Polisi ya Uganda yalumbye offisi za NUP netwala ebintu byaffe -Bobi Wine

 

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,380FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles