Eddy Kenzo akyaali ku level zange teyepanka- Segirinya.

Oluvanyuma lwomuyimbi Edirisa Musuuza abasinga gwebayita Eddy Kenzo okuvayo nalumbagana munakisinde Kya people power ate nga ye Pulezidenti wekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayita Bobi Wine, kansala we Kawempe eyomumambuka Segirinya Muhammad avudeyo namutegeza nti level bakyaali kwemu.

Kino kidiridde omuyimbi Kenzo okuvayo nategeza nti yalumwa nnyo olunaku lwaava ebweru omwaaka oguwedde natasangawo Bobi Wine kumwaniriza wabula neyekanga nga kubanakisinde Kya people power waliwo Segirinya Muhammad yekka.

Kino kyaviriddeko kansala Segirinya Muhammad okuvayo namwanukula nti akendeze kumalala era alekere awo okuyisamu omukulembeze we Bobi Wine amaaso nga amusa kuddaala lyabo abatekedwa okumukima nga Ava kunyonyi.

Segirinya Muhammad yategezeza nti Bobi Wine kimukakatako okunona abantu abali mubifo ebitegerekeka era wano yanokodeyo Pulezidenti wegwanga lya America omukulu Donald Trump, Barrack Obama kwosa ne Buju banton mbu wabula bwekituuka ku Eddy Kenzo, ye Segirinya Muhammad yeyamye okumunonanga kukisaawe kye nyonyi.

Ebanga eriyise omuyimbi Eddy Kenzo abadenga agugulana neĀ  Bobi Wine olwensonga ezitategerekeka bulunji wabula tetunafuna ki Bobi Wine kyakyogerako kino.

Also Read:Bobi Wine didn’t study P. 7 and is an OB in 13 schools

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,379FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles