Edinson Cavani Ayolekedde Okuwelebwa Emipiira Essatu Egya Liigi Y’a Bungereza

Enkambi Ya “Manchester United,” essatira olwa ekibiina ekikulembera omupiira mu Ggwanga lya Bungereza ekya “FA”(Football Association) okubategeza nti kitandise okunonnyereza, kumuteebi wabwe Edinson Cavani nga bamutebereza okukozesa ebigambo byobusosoze.

Kino kidiridde olwa Cavani okuteeka obubaka Kumukutu gw’e ogwa “Twitter” nga akozesa ekigambo “Gracious Negrito.”

Cavani oluffunnye amawulire gano,nayanguwa okugyayo obubaka buno kumukutu gwe,wabula ekibiina ekikulembera omupiira mu Ggwanga lya Bungereza kigamba nti ekyokubija kumukutu tekimujako musango, era ssinga gumuka mu Vvi , Cavani wakuvunanibwa.

Ekigambo “Negrito” kiteberezebwa okuba nti kitegeeza ekibiina Kya bantu abafanagannya obuwangwa,Enoono,Oluliimi lwebogeera ,Eddiini nebilara .

Ebintu ebyekusa ku nsonga eno bikontana namateeka gekibiina ekilembera omupiira mu Ggwanga lya Bungereza ekya “FA.”

Kinajukirwa nga eyaliko omuteebi wa Ttiimu ya “Liverpool,” Luis Suarez nga naye ava mu nsi yemu ne Cavani eya “Uruguay,” yakozesa ekigambo kino “Negrito” mu mwaaka gwa 2011,era kino kyamuvirako okuwebwa ekibonerezo ekyobutazannya mipiira munaana (8).

Ssinga Cavani omusango gumumegga,wakuwerebwa obutazannya mipiira essatu gyoka kubanga ekibiina ekikulembera omupiira mu Ggwanga lya Bungereza ekya “FA” kyakola enoongosereza mu mateeka gakyo nga ssinga omusambi azza omusango nga guno ogwa Cavani, mukiffo kyokuwerebwa emipiira ettaaano(5),giba essatu gyoka kati.

Edson Cavani olunaku lwegulo,yayambyeko “Manchester United” okuwangula Ttiimu ya Southampton eggoolo ssatu ku bbiri (3-2) nga Southampton yawunzise ekitundu ekisooka ekyomuzannyo nga ekulembedde omuzannyo eggoolo bbiri ku bwerere.

Wabula Cavani eyatandikidde ku kateebe, yateebedde”Man U” eggoolo bbiri nayambako ne Bruno Fernandez okuteeba endaala.

Kino ekyafaayo Cavani kyeykoze okuva ku kateebe nateeba ggoolo bbiri nayambako mune okuteeba endaala ,kyamuffudde omusambi wa “Man U” owokubiri mu byafaayo okukikola nga eyasooka ye “Ruud Van Nistelrooy” mu mwaka gwa 2002 nga “Man U”be essamba Ttiimu ya Charlton Athletic.

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,376FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles