Eyaliko Omutendesi wa Dundee United McLean Afudde.

Jim McLean nga yaliko omutendesi wa Dundee Unied,nagiwangulira ebikoopo mu myaka 1970 ne 1980 affiride ku myaka 83.

McLean yawangulira Dundee United ekikopo kya league kyebalina kyoka mu 1983 oluvannyuma lwokugizimba.

McLean nga aliwamu ne Sir Alex Ferguson ku Ttimu y’a Aberdeen,bayugumya Ttimu za liigi ya Scotland okuli Rangers ne Celtic mu myaka gya 1980.

McLean yatwala emyaka 22 okuva mu 1971 nga atendeka Ttimu ya Dundee United,nabawangulira League cups 1980 ne 1981.

Read Also:Murushid Juuko Agenda South Africa

Yafula Dundee united emu ku Ttimu ezamannyi ku bulaaya bweyatusa ku luzannya oludirila olwakamarizo(Semi-Final) Olwa European Cup mu 1980 n’o luzannya olwakamalirizo(final) olwa UEFA Cup mu 1987,nga bakuba Barcelona ekka okuyitawo okugenda ku Fayinoolo.

Jim McLean yatendeka omupiira mu mpaka zabulaaya Ssizoni 14 ezomudiringanwa wakati wa 1971-1991.

McLean Ttimu ye teyavanga mu 5 abasoka Mu liigi,yatuka ku Fiyinoolo zebikoopo 10 nawangulako

McLean ajukirwa nga wangula liigi ye Scotland mu 1982/1983.

 

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,379FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles