Jacob Omutuuze yegase ku people power.

Omukozi woku lediyo Dembe Fm amanyikibwa nga Jacob Omutuuze kyadaki yegase ku kisinde kya People power ekikulirwa omubaka mu palamenti Robert Kyagulanyi Sentamu.

Bino webijidde nga omukulu Ono amaze akabanga nga aguguluna nebanakisinde Kya people power nga era entabwe yavva kukatambi Jacob Omutuuze keyassa kumukutu gwe ogwa Facebook nga kano kakolebwa Kafeero Tobby abasinga gwebamanyi nga Dr T- Amale nga akatambi kano kazalira abakulu bano bombi obuzibu.

Akatambi kano kalimu obubaka obwali bulumba munakisinde Kya people power Bobi Wine nga mukatambi Kano Kafeero Tobby yayolesa obunyivu ku njogera Bobi Wine jakozesa era nagamba nti Ono tasobola kufuuka Pulezident wa Uganda olwenjogera jakozesa yejeyagamba nti evoola abakulu era kino Jacob Omutuuze kyamuletera okukasa ku mukutu gwe nga awagira ebigambo ebyaali byogedwa Kafeero Tobby.

Jacob Omutuuze bweyasa akatambi kumukutu gwe ogwa Facebook abawagizi ba Bobi Wine bagalinda kuteeka okukakana nga basumuluddewo olutalo olwaleetera omukulu ono okubulwa emirembe nga era ekyataasa Jacob Omutuuze kekatambi keyasa ku Facebook ye nga ayogera ne Bobi Wine era namutegeeza ebizibu byeyali ayitamu, wano Bobi Wine bweyamukakanya naye kwekukwaata akatambi kekamu nakasa ku Facebook era olutalo luno kwekuteeka.

Sabiti eno Jacob Omutuuze yagenze ku offisi zekisinde Kya people power ezisangibwa e Kamocha era nga Eno yewandisiza mukisinde ekipya ekya National_Unity_Platform

Era bwatyo nafuuka member wekibiina kino.

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,376FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles