Kampala ojatuuka okumuyitamu nga teri akutunulira- Museveni alabudde Bobi Wine

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni nga ate era yegwanyiza ekisanja ekyomukaaga okudamu okufuga Uganda asinzidde mubitundu bye Jinja jaali mukukuba kakuyege nalabula muna kibiina ekya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu abasinga gwebakazako erya Bobi Wine awamu nabawagizibe nti ekinabatuukako singa betantala okutabangula emirembe mu Uganda jagamba nti gavumenti ye eya NRM jekuumye okumala akabaga kati kamyaaka 34.

Agambye nti ekyatuuka ku bekelakaasi sabbiti bbiri eziyise kyali kituuza era nti mu biseera ebijja, Kyagulanyi ajakutuuka okuyitanga mu Kampala nga tewali wadde akyusa amaaso okumutunuulira.
Wabula ye Bobi Wine abadde tanayanukula kunsonga ezogedwa Pulezidenti Museveni olwensonga ye olunaku lwolwaleero alumazeko nga ali mubitundu bye Kapchorwa, Bududa ne Kween jasiibye nga akuba kakuyege we, katulinde oba anayanukula kunsonga eno.
Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

Stay Connected

22,044FansLike
3,433FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles