Kikino ekiremeseza Harry Kazibwe okufulumya oluyimba olupya.

Abantu abenjawulo bavudeyo nga bemulugunya kukyomuyimbi Harry Kazibwe eyayimba Kyanoga olwokutwaala akabanga akanene nga tanaba kuzza kuluyimba luno olubadde lukyaase nnyo mubiseera bino.

Kino kiviriddeko omuyimbi Harry Kazibwe okuvaayo nabanukula kukyebigambibwa nti alemeredwa okuzaako kuluyimba lwe olwa kyanoha. Harry Kazibwe yategezeza nti alinayo oluyimba olulala wabula nga agamba nti tekijja kuba kirunji kufulumya nyimba zakumu kumu kuba kiyinza okuviirako ezimu obutafuna mannyi gazitambuuza.

Harry Kazibwe omulundi oguwedde oluyimba lwe olwa Kyanoga yalukolera mu studios za Brian Beats wabula omulundi guno yategezeza nti akayimba ke akalala kaleeta yakakoledde womu kuba producer benyimba wano mu Uganda abaamanyi.

Harry Kazibwe yomu kubaana ba musaayi muto abawanise ensiike yebyokuyimba mumwaaka guno era nga abatunulizi bensonga abenjawulo bamusonzemu okuba nga wankiizo nnyo olwenyimba zze ezirimu obugambo obuwoomu.

Laba kukamu kubuyimba bwa Harry Kazibwe kebayita Kyanoga.

Frank
Frankhttp://www.fremermedia.com
Frank Fremer is a seasoned journalist, blogger and political analyst for over a decade in Uganda

Related Articles

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Stay Connected

22,044FansLike
3,380FollowersFollow
0SubscribersSubscribe

Latest Articles